Wikipedia

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jump to navigation Jump to search

Wikipedia gwe mukutu ogukwataganya ennimi ez’enjawulo ezekenenyezeddwa nga guwandiikibwako abantu ab’enjawulo mu nkola ey’obwannakyewa. Wikipedia mutimbagano gwa magezi ku bintu byonna mu nsi. Amagezi gano gaweebwayo ku bwereere okuva mu bantu abokozesa ennimi 287 ez’ enjawulo. Bannakyewa okwetoolola ensi eno bakawandiika ku mitwe egy’enjawulo egiwerera ddala obukadde makumi asatu mu nnimi ez’enjawulo 287 be ddu, nga mwotwalidde n’ebiwandiiko ebiwera obukadde buna n’emitwalo ana nga bya lulimi Olungereza. Omuntu yenna asobola okweyunga ku mutimbagano guno, ne yekenenya ebiwandiiko ebiriko, era asobola okukola enkyukakyuka okusinzira ku bukugu bwe ku kiwandiiko ekyo. Wikipedia gwe mukutu ogusinga okweyunirwa mu kunoonyereza ku magezi ag’enjawulo. Mu mukutulansanja, 2014, olupapula “New Times” mu Bungereza lwakakasa nti Wikipedia ekwata kifo kya kutaano mu nsi yonna mu mitimb .agano gya yintanneti egikozesebwa. Kino kyesigamizibwa mu miko gy’ebiwandiiko obuwumbi kkumi na munaana (18) egisomebwa abantu abasukka mu bukadde ebikumi bitaano (500) buli mwezi, okusinzira ku mukutu ogwa comScore. Mu mikutu egikulembedde Wikipedia, mulimu ogwa Yahoo, ogwa Facebook, Microsoft n’ogwa Google, era ng’ogusinga mu mikutu egyo gukyalirwa abantu akawumbi kamu n’obukadde bibiri buli mwezi. Jimmy Wales ne Larry Sanger be batandika Wikipedia nga 18 Gatonnya 2001. Ye Larry Sanger ye yayiya erinnya Wikipedia ng’alijja mu” kagambo “Wiki” akategeza “ekyangu” mu lulimi lw’e Hawaii n’ekigambo “pedia” ekitegeza “obugunjufu mu lulimi Olugereki. Enkola ya Wikipedia eyawunkana ku mpandiika y’ebitabo eby’amagezi ebimanyiddwa ennyo ate n’olw’okuba nti bingi ebiwandiikibwamu tebikwatagana na byanjigiriza mu matendekero, kigireetedde okuganja ennyo mu by’amawulire. Mu mwaka 2006, akatabo Time Magazine ak’e Bungereza kaalonda Wikipedia ng’omukutu oguleese enkulaakulana ey’omujjirano ku mitimbagano gya yintaneti nga gukozebwa obukadde n’obukadde bw’abantu okwetoolola ensi eno, nga kwegattidwako n’emikutu emirala emiganzi ennyo nga Youtube, Reddit, Myspace ne Facebook. Wikipedia gufuuse omukutu oguyayanirwa ennyo mu by’amawulire naddala ago agakagwawo.

Wadde ng’enkola ya Wikipedia ewa omukisa buli muntu okuwandiika eby’amagezi era n’abiteeka ku mukutu guno, oluusi mubaamu ebiwandiikiddwa nga mulimu ebibulamu, nga tebituukiridde ate oluusi abantu bagweyambisa okwonoona ebiwandiiko eby’amagezi.

Mu 2005, mu kunoonyereza kw’abakugu b’ekitongole ekya “Nature”, kyazuulibwa nti ebiwandiiko bya Sayansi 42 ku mukutu gwa Wikipedia byagerageranyizibwa nga bituukana bulungi n’ebyo ebiwandiikiddwa ba kagezimunyu mu kitabo ekiganzi ennyo ekya Encyclopedia Britannica.